LOOYA EYAFIIRIDDE MU KABENJE: Wabaddewo okumusabira mu Eklezia e Luzira
Paul Awalyo nga ye taata wa Raphael Okiyot eyafiiridde mu kabenje ku bitaala by'e Nkumba ategeezezza nga nga kati bwasigazza omwana omu yekka ku bana b'eyazaala nga waliwo n'eyafa omwaka oguwedde. Awalyo abadde mu missa y'okusabira Mutabani we eyindidde ku eklezia ya St. Joseph and Bruno esangibwa e Luzira. Okiyot okufa kyaddiridde ekimotoka ekitabula enkokoto okugwira mmotoka mweyali atambulira ngayimiridde ku bitaala bye Nkuumba.Omu ku bakyala b'omugenzi nga mulamuzi yeetonze olw'emivuyo egyeyolese mu kufa kwa bba .