Ebiragalalagala bisuse e mu bavubuka e Mityana
Abakulembeze e Mityana basobeddwa olwa bavubuka abaasalawo okukozesa ebiragalalagala eby’okukola nebabivaako okukakkana nga batandise okutigomya abatuuze.
Ku lunaku lw’abavubuka olw’essaza lya Kiyinda -Mityana, kino era bakitadde ku bbula ly’emirimu mu kitundu kyabwe ekisindiikiriza abavubuka mu biragalalagala.
Kati basaba gav’t ebeereko kyekola mu kutondawo emirimu.