Isma Matovu ayagala bwenkanya: Yakubwa esassi n'atemwako okugulu
Waliwo omutuuze w’e Kasana mu disitulikiti y’e Luweero alaajana olw’ennaku gyayitamu oluvanyuma lw’okukubwa essassi eryamuviirako okutemebwako okugulu.
Isma Matovu yakubwa essasi mu mwezi gw’okusanvu omwaka oguwedde, kyoka ne gyebuli eno tafunanga bwenkanya nga n’eyamukuba essassi takwatibwanga.
Ono alumirizza Poliisi okuzibikiriza omukuumi wa kampuni y’obwanannyini eyamukuba essassi okumuleka n’agenda nga takwatidwa.