Omusajja eyatemyetemye abamu ku baana be, poliisi yamusse
Omuzigu alumbye amaka g’omutuuze e Ndejje - Kibutika mu munisipaali ya Makindye Saabagabo n’awamba ababadde mu nyumba.
Ono olusabye sente nebatazimuwa n’asalawo okutematema abaana. Poliisi etuuse mangu n’emenya enyumba n’emusindirira amasasi agamusse.