Poliisi egamba tennazuula bikwata ku muvubuka eyawambye abaana n'abatematema
Poliisi etegeezeza nga bwetalina kyeyaazudde ku bikwata ku muvubuka eyakubiddwa amasasi olunaku lw’eggulo agaamuse oluvanyuma lw’okulumba amaka agamu e Ndejje Kibutika n’awamba maama n’abaana okukakkana nga abaana abatuusizaako obuvune.
Poliisi egamba nti esuubi ligiri mu simu eyasangiddwa n’omugenzi wadde nga mukiseera kino tennaba kutereera.
Ye maama w’abaana atutegeezeza nga abaana bwebagenda bakuba kumattu n’atubuulira n’embeera bweyabadde.