Poliisi ekubiriza abazadde obutasulirira baana mu luwumula
Poliisi ekalaatidde abazadde okuba obulindaala ku baana baabwe abatandise okukomawo mu luwummula olusooka - poliisi egamba emize mingi abayizi gyebayigira mu luwummula n’olwekyo abazadde balina okuba abegendereza eri abaana baabwe.
Poliisi era erabudde ku nkuba efuddemba ensangi zino, naddala ku bantu abawangaalira mu bifo eby’obulabe nabo okulya kamanya nga akoza n’owebwa.
Kuludda olulala ekitongole ekivunaayizibwa kukubala abantu ki Uganda Bureau of Statistics (UBOS), kitangaaziza nti n’abagwira abali mu ggwanga mu kiro eky’okubala nabo baakubalibwa n’enteekateeka z’okubala bannayuganda abali emitala w’amayanja okubalibwa nazo ziwedde.