menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 5 days 2 hours ago
97 Views
Ekikwekweto e Nansana, abavubuka abasoba mu 10 bakwatiddwa

Omuvubuka abadde agufudde omugano okubba engato z’abatuuze ku miryango ataasiddwa ku batuuze ababadde baagala okumumiza omussu e Kazo mu Gombola y’e Nabweru.

Ate Poliisi y’e Nansana ekoze ekikwekweto mwekwatidde abavubuka abasoba mu 10 abateeberezebwa okuba abamenyi b’amateeka amakya galeero nga bano basangiddwa mu bibanda bya firimu n’awalala.