menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 6 days 6 hours ago
143 Views
Gav’t ekatemye abasawo: Okubongeza omusaala kwa mwaka gwa bya nsimbi ogujja

Nga abasawo balinda okubongeza omusaala nga bwebaasubizibwa, gavumenti ekabatemye nga bwebalina okulinda omwaka ogujja mu mwezi gw’omukaaga nga embalirira y’eggwanga emazze okusomebwa.Bino byogeddwa minister omubeezi ow’eby’obulamu Sarah Opendi mu kakiiko ka palamenti ak’eby’obulamu.Kyoka bbo abasawo bawera okuddamu okwediima singa 16 omwezi guno gutuuka nga gavumenti tekoze kunsonga zaabwe.