menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 week 1 day ago
948 Views

Share this story

Abagisu baagala ettaka elyawebwa kakungulu libaddizibwe
Omukulembeze w’abagisu ow’enono Bob Mushikori ayagala famile ya Semei Kakungulu egobwe ku ttaka abagisu lyebagamba nti yaliwambako mu biseera by’abafuzi b’amatwale.

Semei Kakunguru yali mukungu wabwakabaka bwa Buganda era eyayamba ennyo abafuzi bamatwale okufuga ebintu nga Bunyoro ne Bugisu.

Newankubadde abawandiisi bebyafaayo Kakunguru bamuwandikako nga eyayambanyo abazungu okuwamba ebitundu bya Uganda ebyenjawulo, abamu bamuwandikako nga eyayamba ennyo okusasanya eddini n’ebyenjigiriza.

Kakunguru bweyasindikibwa e Busigu ono agambibwa okuba nti yesenza kubwaguga bwettaka era kigambibwa nti Famile ya Kakunguru erina ettaka eriri kumaggombolola nga Namanyonyi, Nakaloke , Lwasso ne Bungokho Mutoto.

 

Omukulembeze w’abagisu ow’enono Bob Mushikori ayagala famile ya  Semei Kakungulu egobwe ku ttaka abagisu lyebagamba nti  yaliwambako mu biseera by’abafuzi b’amatwale.

Bino Umukuka Bob Mushikori abisabye akakiiko k’ebyettaka akakulemberwa omulamuzi Catherine bamugemereire akali e mbale mu kiseera kino.

Umukuka ategeza akakiiko kebyettaka akakulemberwa omulamuzi Catherine Bamugemereire nti ettaka lyabagisu era Kakunguru amuyise mubbi wa ttaka e Bugisu.