menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 2 months 2 weeks ago
389 Views

Share this story

Okusasula abasawo: Ssente zaabwe za mwaka gwa bya nsimbi ogujja
Minisita omubeezi ow'ebyobulamu Sarah Opendi ategezezza akakiiko ka palamenti ak’ebyobulamu nga ensimbi ezetagisa bweziri enyingi ezitayinza kufunika mu kiseera kino

Omwezi oguwedde,  abasawo mu malwaliro ga gavumenti agenjawulo bateeka wansi ebikola  nga babanja okwongezebwa omusaala.

Olwokunyigirizibwa eri munnayuganda, gavumenti yasalawo okuteesa n'abasawo bano nebasuubiza mu buwandiike nga bwegenda okubongeza omusaala.

Abasawo bawuliriza ebyabasuubizibwa nebadde ku mirimu nga basuubira nti mu bbwangu omusaala gwabwe gwakwongezebwa.

Wabula olwaleero, minisita Omubeezi ow'ebyobulamu  Sarah opendi  bw'abadde alabiseeko eri akakiiko ka palamenti ak'ebyobulamu ku nsonga z'abasawo , akabatemye nti ebyokubongeza bijulidde mwaka gwabyansimbi ogujja  nga era gwakuteesebwako mu kabineti olwomukaaga luno.

Bino olugudde mu matu g'abakulembeze b'abasawo nebawera okuddamu okwediima nsalaessale wa nga 16 December gwebaawa gavumenti kaageza natuuka nga tebanafuna byabasuubizibwa.

Yadde nga abasawo babadde basuubira waakiri okwo0ngezebwa omusaala okuva ku nyongereza y'embalirira,  ssentebe w'akakiiko ka palamenti ak'ebyobulamu Dr.Michael Bukenya  ategezezza nga ensimbi zino bwezijja okweyambisibwa okugula ebikozesebwa mu malwaliro sso ssi kwongeza misaala gy'abasao.

Dr.Ekwaro Obuku era asekeredde ekiteeso kya gavumenti okuleeta abasawo okuva e Cuba okuziba eddibu ly'abasawo abatamala .

Abasawo baagala omusawo asembayo okufuna omusaala omutono afune obukadde butaano sso nga asinga obukadde anamubutaano buli mwezi.