menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 5 days 21 hours ago
732 Views

Share this story

Obukkulupya mu bayizi: Ab’ekyambogo lukumi boolekedde akatyabaga
Waliwo abamu ku bayizi abagyingirira card ezibakkiriza okutuula ebigezo kyokka nga baali tebannasasula bisale bya ssomero nga n’abasinga ku bano ensimbi abazadde babwe baali bazibawa kyokka nebazikozesa byabwe

Nga abayizi ku ttendekero erye Kyambogo bali mu kukola bigezo eby’okufundikira semisiter oba olusoma olusooka, waliwo abayizi abatasobodde kukola bigezo olw’ensonga y’okuba nti tebanasasula bisale bya ssomero.

Kyokka eky’ennaku, waliwo abamu ku bayizi abagyingirira card ezibakkiriza okutuula ebigezo kyokka nga baali tebannasasula bisale bya ssomero nga n’abasinga ku bano ensimbi abazadde babwe baali bazibawa kyokka nebazikozesa byabwe.

Vice Chancollor w’ettendekero lye Kyambogo Prof. Eli Katunguka agamba nti abayizi bonna abagyingirira card nebakkirizibwa okukola ebigezo bagenda kuvunanibwa omuli okusazaamu ebigezo byabwe kko n’abamu okubatwala ku poliisi babitebye.

Ku matikkira g’omulundi ogw’ekkumi n’ena (14) ag’okubeerayo nga 13 ne 15  December w’omwaka guno, university erina entekateeka ey’okuwa transcript eri abayizi abatikkidddwa era nga wano chancellor wasinzidde nalabula abakozesa okwegenderezza ennyo transcript zino kubanga waliwo abamu abazigyingirira era nga kino bakizuula oluvannyuma lw’okusuula enkessi.

Okufananako ne university endala eza gavumenti, university ye kyambogo eriko ebintu ebirala bingi ebigyyisomooza omuli n’ekyokuba nga y’etaaga ensimbi eziri eyo mu buwumbi obusoba mu 50 okusobola okuddukanya emirimu gy’ettendekero.

Wabula chancellor agamba nti nga bwebalindirira gavumenti okubaddukirira bali mu ntekateeka ey’okulaba nga bakulakulanya erimu ku ttaka lyebalina basobole okuggyamu ssente okukola ku bimu ku byetaago bya university.