menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 5 days 21 hours ago
330 Views

Share this story

Omusango gwo omulamuzi Agnes Napiyo, avunanibwa okusaba enguzi gwongezedwayo
Agnes Napiyo yakwatibwa abakulu okuva mu ofiisi ya kalisoliiso wa gavumenti nga alangibwa kulya nguzi yakakadde kalamba

Kkooti erwanyisa obukennuzi ewadde kalisoliiso wa gavumenti okutuuka nga 25, January omwaka ogujja okuleeta obujjulizi obulumiriza omulamuzi ow’eddala eryokubiru e Nakawa oba sikya omusango gwakugobwa .

Agnes Napiyo yakwatibwa abakulu okuva mu ofiisi ya  kalisoliiso wa gavumenti nga alangibwa kulya nguzi yakakadde kalamba.

Kati omulamuzi weddaala erisooka mu kkooti ewozesa abakenuzi  Patricia Amoko awadde ofiisi ya Kalisoliisa Nsalesale ku  nsonga eno.

Kino kiddiridde munnamatteeka wa Napiyo , Denis Nyombi okutegeeza kkooti nga eddembe ly’omuntu we bweriri mu kulinyirirwa kubanga okuva mu July omusango guno lwegwalina okuwulirwa n’okutuusa kati tewali kigenda mu maaso, sso nga n’abawaabi ba Kalisoliiso abalina okuwa obujulizi tebalabiko .

Napiyo agamba nti naye bimutamye