menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 week 6 days ago
817 Views

Share this story

Omukazi asse bba we e Kaliro lwa kugaana kumulaga mukwano
Ono omukyala abadde yakalongoosebwa nga yazaala emyezi ebiri egiyise ng’oba olyawo yemu ku nsonga ebadde eviirako bba okumwewala nasula mu bakyala be abalala. Kigambibwa nti Butera abadde n'abakazi basatu, era nga abadde takyasula wa Nambi, nga kino kyekizze kitabula abafumbo bano.

Ku kyalo Nakiyanja ekisangibwa mu town y'e Kaliro yewagudde entiisa omukyala ategerekese nga ye Harriet Nambi ow'emyaka 24 bwagudde ku bba Musa Butera namufuta ekyambe ekimuggye mu budde  ng'amulanga kugaana kumulaga mukwano

 

Nambi abadde yakalongoosebwa nga yazaala emyezi ebiri egiyise ng’oba olyawo yemu ku nsonga ebadde eviirako bba okumwewala nasula mu bakyala be abalala

Kigambibwa nti Butera abadde n'abakazi basatu, era nga abadde takyasula wa Nambi, nga kino kyekizze kitabula abafumbo bano.

 

Atiddwa abadde ssentebe w'abavuzi ba boda boda e Kaliro, ate nga Nambi musomesa mu ssomero lya pulayimale erimu mu kitundu kino.

 

Okusinzira ku muliriranwa, abantu bano ennaku essatu eziyise bazimaze nga bakubaagana ku nsonga z’amaka

Abeerabiddeko nagabwe bagamba nti abafumbo bano basose kuyomba, kyoka ekyaddiridde ye mukyala okufumita bba akambe.

 

Abantu abenjawulo okuli ne poliisi bavumiridde ekikolwa eky'obutemu kino.

 

Omulambo gwa Butera, poliisi egukwasiza abenganda ze bagenda mu maaso n’okuziiko, yo nga bwekola okunoonyereza  ku nsonga eno .