menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 week 2 days ago
361 Views

Share this story

Amyuka sipiika Oulanya awadde gavumenti n’abavuganya amagezi bateese okwewala akanyoolagano
Oulanyah, ategezeza nga ebyaliwo bwebitasaana kuddamu kulabibwa era nalagira Ssaaabaminista Dr Ruhakana Rugunda, akulira oludda oluvuganya Winnie Kiiza ne Banampala b'ababaka okugonjola obutakanya ngabayita mu kuteesa.

Palamenti ezeemu okutuula olunaku olwaleero, omulundi ogusokedde ddala mu lutuula olw'omulundi ogw'okusatu mu palamenti y'ekkumi.

 

Wabula ababaka ababadde bamuswaba kunjuyi zombi. 

 

Amyuka Sipiika Jacobo Oulanyah yakubiriza olutuula olwaleero era kunsonga ezimu zeyesigamyeko mu bubaka bwe, kwekusika omuguwa okwalabibwaka mu palamenti kunkomerero y'omwaka oguwedde, ababaka bwebali bakubaganya ebirowoozo ku bbago ery'okujja ekkomo ku myaka egy'omukulembeze. 

 

Omukulembeze w'eggwanga eteeka lino yalisaakodda omukono.

 

Oulanyah, ategezeza nga ebyaliwo bwebitasaana kuddamu kulabibwa era nalagira Ssaaabaminista Dr Ruhakana Rugunda, akulira oludda oluvuganya Winnie Kiiza ne Banampala b'ababaka okugonjola obutakanya ngabayita mu kuteesa.

 

Ababaka okusaba kwa Oulanyah bakuwagidde. 

 

Oulanyah era ategezeza nga ababaka okuliko Ibrahim Ssemujju Nganda owa Kiira Munisipaali , Gerald Karuhanga  owa Ntungamo munisipaali ne Anthony Akol wa Kilak North  abagobwa mu palamenti olwokweyisa obubi ekibonerezo kwabwe bwekiweddeko olunaku olwaleero. 

 

Kyoka abalala okuli Allan Sssewanyana owa Makindye West, Mubarak Munyagwa owa Kawempe South ne Jonathan Odur owa Erute South bwebakyalina okukola ekibonerezo kyabwe okutuusa weeki ejja. 

 

Mungeri yeemu, ababaka batabukidde minister omubeezi oww'ebyobulamu Jane Aceng kusonga z'ekirwadde kya Congo Fever ekigabibwa okulumba abantu mu disitulikti ye Nakaseke. 

 

Kino kidiridde minista  okugaana okuddamu okusaba kw'omubaka wa Nakeseke South ssemakula Luttamaguzi, abadde ayagala anyonyole egggwanga ku kirwadde kino. 

Sipiika minister amulagidde adde kulunaku lw'okuna anyonyola ebisingawo.