menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 2 months 1 week ago
528 Views

Share this story

Okutulugunya abatembeeyi : Abaserikale ba KCCA baguddwako omusango
Abalabiseeko mwemuli Tito Kagiri , Eria Wasswa, Moses Tebyasa ne Faruk Mpiima.

Abaserikale ba KCCA  bana abakwasisa amatteeka , abagambibw aokuba nga beebaviirako omukazi Oliver Basemera okufa basimbiddwa mu kkooti e Nakawa.

Bano baguddwako omusango gwokutta mu butali bugenderevu .

Abalabiseeko mwemuli Tito Kagiri , Eria Wasswa, Moses Tebyasa ne Faruk Mpiima.

Bano basomeddwa omusango guno mu maaso gomulamuzi wa kkooti e Nakawa Lillian Buchana , nga kigambibw anti omusango guno baguza nga nnya , August 2017.

Bakiriziddwa okweyimirirwa ku mitwalo gya silingi amakumi ataano egyobuliwo, sso nga ababeeyimiridde balagiddwa okusasula obukadde busasula obukadde busatu ezitali zabuliwo