menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 3 months 2 weeks ago
439 Views

Share this story

Enjaga elinye omuvubuka e Wakiso n'atta muganda we
Ssentebe wa LC 1 mu kitundu kino agamba nti ab’oluganda bano babadde balinamu enkaayana ku ttaka, nga waliwo ne lweyabatabaganya.

Yonasan Kiwanuka  23 kati aliira ku nsiko atirimbude mukulu we Julius Nsamba owe myaka 45.

 

Ababiri bano babadde basula mu nnyumba y’emu  wamu ne muganda wabwe Kasozi nga ono atubuulidde ebyabaddewo ku makya mu kadde weyazuulidde nti mukuluwe atiddwa.

 

Abavuzi ba boda mu kitundu bebamu ku basoose okutegeera ku ttemu lino, kyokka basoose kubiyita bya lubalaato nga bagenze okutegeera nti ensonga za ddala nga ne Kiwanuka amaze okudduka era bwebatyo nebalemererwa okumukwata.

 

Ssentebe wa LC 1 mu kitundu kino agamba nti ab’oluganda bano babadde balinamu enkaayana ku ttaka, nga waliwo ne lweyabatabaganya.

 

Wabula muganda wabwe omulala eby’enkayana ku ttaka abiwakanyizza nga agamba nti tezibaddewo wabula nga alowooza nti kino kyandiba nga kivudde ku kunywa njaga olw’ensonga nti agambibwa okukola obutemu enjaga abadde agyifuwetera ddala.

 

Akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango ku police e Wakiso ategezezza nga omuyiggo gwa Kiwanuka bwegwatandise edda.