menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 3 months 2 weeks ago
369 Views

Share this story

Loodi meeya Lukwago mweraliikirivu lwakuba KCCA ebanjibwa obuwumbi abiri mu musanvu
Wabula kino Lukwago n’abamu ku bakansala bakitadde ku pulezidenti Museveni gwagamba nti ye ne Gavumenti bayisa ebiragiro ebigaana banakampala okuwa emisolo okuyimiriza abantu okuwa emisolo naddala egyiva mu takisi.

Alipoota y’ekitongole ki KCCA ey’omwaka 2017/18 ebadde ku mwanjo nyo mulutuula lwa bakansala olusokedde ddala omwaka guno olwaleero.

Okusinzira kwa lipota y’ebyensimbi eno, ekitongole ki KCCA kibangibwa obuwumbi abiri mu musanvu ebitongole ebitali bimu.

 

Mu bimu ku bitongole ebibanja KCCA, kuliko  URA nga ebanja obuwumbi munana oluvanyuma lw’obutasasula musolo gw’abakozzi oguyitibwa Pay As you Earn, ekirala kyeki NSSF nga kino nakyo kibanja obuwumbi bubiri nga ssente ezirina okuwebwayo ku lw’abakozi ,saako n’amabanja ga Kkooti mu nkoola eyokuyiririra abantu abamezze KCCA mu misango egyenjawulo.

 

Kino kyeralikiriza Lukwago nateegeza nga ekitongole kya KCCA bwekyolekedde okuggalawo singa tekiddukirirwa.

Wabula kino Lukwago n’abamu ku bakansala bakitadde ku pulezidenti Museveni gwagamba nti ye ne Gavumenti bayisa ebiragiro ebigaana banakampala okuwa emisolo okuyimiriza abantu okuwa emisolo  naddala egyiva mu takisi.

 

Mulukiiko lwelumu waliwo  Kansala aleese ekiteeso KCCA okuggala bucher zennyama zona mu kampala nga okunonyereza bwekugenda mu maaso ku nsonga yabatemi benyama abagambibwa okukozesa eddagala eryobulabe eri obulamu bw’abantu.

 

Wabula ekiteeso kino kiwakanyizidwa olukiiiko nti kyanditwaliramu  nebasaalumanya.

 

Olukiiko lwongezedwayo okutuusa sabiti egya nga ensonga zino lwezinaasimbibwako omulaka mu bujjuvu.