menu

Mobile Search

You are here

You are here

Omubaka Ssemujju ayagala abakozi ba gavumenti emmotoka bazifune ku looni
Okusinzira ku kiteeso kya Ssemujju, buli mukozi wa gavumenti anawebwa emotooka wakuwebwa emyaka enna okujisasula

Nokutuusa olwaleero gavumenti ekyasala entonto bukya bweyinza okufuna ensimbi obuwumbi lukumi mu lukaaga, zeyetaaga okusasula emisaala gy’abakozi abazze ngabekalakasa.

Wabula ebbula ly’ensimbi lino lyandinogerwa eddagala singa, palamenti eyisa ate ne gavumenti nessa munkola ekiteeso ky’omubaka wa Kira Munisipaali Ibrahim Ssemujju Nganda, ekyagala gavumenti ekomye okugulira banabyabufuzi wamu n’abakozi bayo emotooka.

 

Okusinzira ku kiteeso kya Ssemujju, gavumenti erina okutandika okuwola, abakozi bano ensimbi ez’okugula emotoka n’oluvanyuma bawebwe ebanga lya mwezi enna, okusasula ebbanja.

 

Ekiteeso kya Ssemujju wekijidde nga ensimbi gavumenti zesasanya ku motoka z’abakozi zeyongera buli myaka.

 

Okusiznira ku mateeka agafuga abakozi ba gavumenti, abakozi ba gavumenti okuva ku ddala lya Director, n’abakulira ebitongole balina okuggulirwa emotoka.

 

Kyoka Ssemujju agamba nti okusinzira kunsonga z’ebyokwerinda, pulezidenti, amyuka pulezidenti, Ssabaminister, sipiika, Amyuka sipiika, Ssabalamuzi, amyuka Ssaabalamuzi n’akulira abalamuzi, balina okuwebwa emotoka ezobwerere.

 

Akolanga minister w’empuliziganya Chris Baryamunsi agamba nti gavumenti yakwongera okwetegereza ekiteeso kya Ssemujju singa anakyanja mu palamenti.

 

Wabula ababaka ba palamenti abasinga obungi ekiteeso kya Ssemujju bakisimbidde ekkuli.

Enkola eyokuwola abakozi bagavumenti emotoka singa palamenti egyiyisa tejja kutandikira mu Uganda, kubanga ne Rwanda, abakozi emotooka bazewola.