menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 4 months 1 week ago
583 Views

Share this story

Omuwala eyabula e Nansana yeeraliikirizza abazadde
Abantu ba Nanyange bali mu kutya nti ono naye abatemu abeefudde mukoko e Nansana bandiba nga ne muwala waabwe baamumiza omusu.

Ng’ekitta bakazi mu district eye Wakiso kikyayogeza abantu obwama, nate waliwo amaka mu bitundu bye Nansana agali mu kusattira olwa muwala waabwe okubula kati ssabiiti bbiri.

Christine Nanyange nga wa myaka 16 gyokka, yava ewaka nga agenze okwetaaba ku bikujjuko by’abavubuka ku Kelezia gy’asabira wabula okuva olwo teri amanyi mayitire ge.

Abantu ba Nanyange bali mu kutya nti ono naye abatemu abeefudde mukoko e Nansana bandiba nga ne muwala waabwe baamumiza omusu.