menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 3 months 1 week ago
776 Views

Share this story

Amyuka omukulembeze wa FDC Salaam Musumba agamba obugulumbo bukolebwako
Enajawukana mu bammemba b’ekibiina ki FDC zatandikirawo okweyoleka amangu ddala nga Patrick Amuriat kyajje alondebwe ku bwa’ pulezidenti bw’ekibiina

Enajawukana mu bammemba b’ekibiina ki FDC zatandikirawo okweyoleka amangu ddala nga Patrick Amuriat kyajje alondebwe ku bwa’ pulezidenti bw’ekibiina

Enjawukana zino zisinga kwetooloolera ku ngeri ekibiina kino gyekizannyamu ebyobufuzi ng’abamu balowooleza mu kuguguba oba defiance so nga abalala balowooleza mu nkola ey’okuzimba emisingi gy’ekibiina

Olwaleero amyuka akulira FDC mu buvanjuba bwa Uganda Proscovia Salaam Musumba ategeezezza ng’a pulezidenti w’ekibiina kino bwaliko watuuse mu kumalawo enjawukana zino.

Kyali kilowoozebwa nti Amuriat waakwanguya okukyusa mu bukulembeze bw’ekibiina amangu ddala nga yaakalayizibwa, wabula Musumba atangaazizza nga kino bwekitasoboka okusinziira ku ku ssemateeka afuga ekibiina 

Ku ky’ebbago ly’okuggya ekkomo ku myaka erisuubirwa okudda mu palamenti wiiki eno, Musumba alabudde bwewagenda okubaawo obugombe

 

Musumba era Yeemulugunyizza ne ku ngeri akakiiko ka paalamenti ak’ebyamateeka akakulirwa Jacob Oboth-Oboth gye kakuttemu ensonga y’ebbaga lino 

Musumba awadde bannansi amagezi babeere bulindaala gye balondera, okwetegereza engeri abakiise baabwe gye banaateesamu mu paalamenti ku kiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga