menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 week 3 days ago
321 Views

Share this story

Obuli bw’enguzi: Minisita Beti Kamya alabudde abakozesa erinnya lye
Minisita wa Kampala Beti Kamya alabudde abo abakozesa erinya lye nga basaba abantu sente bakikomye kubanga anakwatibwako kakumujjuutuka.

Minisita wa Kampala Beti Kamya alabudde abo abakozesa erinya lye nga  basaba abantu sente bakikomye kubanga anakwatibwako kakumujjuutuka.

Minisita era ategeezezza nga bwewaliwo owa poliisi akolera ku poliisi ya USAFI anoonyerezebwako ku bigambibwa nti aliko ensimbi zeyasaba abasuubuzi okusobola okubakolera ku nsonga zabwe , nga eddoozi lyona lyakwatibwa ku katambi era nerisindikibwa ewa ssenkulu wa poliisi.  

Minisita Kamya olwaleero  asisinkanye abagoba ba takisi okuva mu ppaaka ye Nateete abamusanze mu ofiisi ye enkya yaleero era nalagira poliisi okutuukiriza ebiragiro byeyawa ku ppaaka z’amotoka .