menu

Mobile Search

You are here

You are here

Makerere yunivasite eweze eky’abasomesa okugololera ebibuuzo mumaka gabwe
Ono y’omu ku kaweefube agendereddwamu okulwanyisa omuze gw’abasomesa okusaba abayizi omukwano olwo balyoke babawe obubonero obubayisa.

Abakulira  Yunivasite e Makerere baweze eky’abasomesa okuddamu okugololera ebigezo by’abayizi  awaka waabwe  .

Ono y’omu ku kaweefube agendereddwamu okulwanyisa omuze gw’abasomesa  okusaba abayizi omukwano olwo balyoke babawe obubonero obubayisa.

 

Munkola empya abasomesa kati tebakyakirizibwa kugololera bigezo waka waabwe, nga bwebadde efuuse nkola eri abamu.

 

Amyuka akulira entendekero Prof Barnabas Nawangwe agamba nti,bataddewo ebifo ebyenkalakalira mu ntendekero ebigezo webirina okukeberebwa.

Nawangwe agamba nti n’ekizibu ky’obubonero bw’abayazi okubula kyakumalibwawo entekateka eno.

 

Enkola eno eyokugorera ebigezo mu kifo ekyawamu ,yeemu kukyukakyuka ezireteddwa amyuka akulira entendekero Prof Barnabas Nawangwe okulwanyisa omuze kgw’okubuza obubonero by’abayizi wamu n’abasomesa okulwawo okugolola ebigezo.

 

Ebiseera ebisinga ebizibu bino bivuddeko okwekalakasa kw’abayizi

 

Akakiiko akatekebwawo omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni okunonyereza ku bizibu bya Makerere kanokolayo abasomesa okusaba abayizi omukwano okubawa obubonero ngekimu ku bizibu Makerere byetubiddemu

Wabula Nawangwe agamba nti enkola eno yakumalawo emiwatwa gyona, abasomesa mwebabadde bayita okukabasanya abayizi

Kyoka abasomesa bamuwakanya