menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 3 months 2 weeks ago
518 Views

Share this story

Palamenti ekizudde nti alipoota ku byali e Kasese teliwo
Amyuka akulira akakiiko kensonga ez’omunda Kezekia Mbogo olunaku lwegulo yategeezezza palamenti nga alipoota eno bweyaggwa edda, bwetyo neteekebwa ku lukalala lwebintu ebirina okutesebwako olwaleero, naye nga talabiseeko.

Amyuka sipiika wa palamenti Jacob oulanya , ayise akulira akakiiko ka palamenti akensonga ez’omunda n’omuyuka we , nga abalanga okulimba palamenti ku bikwatagana ne alipoota ekwatagana n’obusambatuko obwali e kasese.

 

Amyuka akulira akakiiko kano Kezekia Mbogo olunaku lwegulo yategeezezza palamenti nga alipoota eno bweyaggwa edda, bwetyo neteekebwa ku lukalala lwebintu ebirina okutesebwako olwaleero, naye nga talabiseeko.

 

Abamu ku babaka abali ku kakiiko kano bategeezeza sipiika nga alipoota ebo bwetaliwo.

 

Ate ye omubaka wa Munisipaali ye Kira Ssemuju Nganda ayanjiza ekiteeso nga ayagala abakungu ba gavumenti balekere awo okuweebwa mmotoka ezobwerere, wabula bazifunire ku looni era basasule mu ngeri y’ekibanja mpola .