menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 week 17 hours ago
602 Views

Share this story

EKOMO KU MYAKA: Akakiiko k’amateeka kaagala kongerwe obudde
Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku mateeka akali mu kwekenenya ebbago eryagala okujja ekkomo ku myaka gy’omukulembeze kamaze okuwandikira sipiika nga kamusaba akongereyo obudde okwekenenya ebbago lino.

Weeki ejja ng'enaku z'omwezi 16 ennaku 45 ezewebwa akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku mateeka akali mu kwekenenya ebbago eryagala okujja ekkomo ku myaka egy'omukulembeze w'eggwanga lweziggwako.

Wabula, ababaka abatuula ku kakiiko kano bagamba nti omulimu ogwabawebwa gukyali munene, era ngatebasobola kumalirirza mulimu gusigaddeyo.

Akakiiko kano kaali kaaweebwa ennaku 45 okukola omulimu guno.

Kyokka ababaka ku kakiiko kano bagamba nti, bakyalina abantu abalala bebalina okusisinkana nga tebasobola kubamalayo mu nnaku ezisigaddeyo.

 

Mu mboozi eyakafubo ne NTV amyuka ssetebe w'akakiko kano era omubaka wa Gomba West Robina Rwabwogo atubulidde nti bamaze okuwandikira sipiika ngabamusaba abongere obudde.Rwabwogo atubulidde nti bakyalina okusisinkana abantu abalala omuli ne bannamateeka abenyigira omutereevu mu kukola ssemateeka 1995.Kungeri akakiiko kyekabadde kakolamu emirimu gyako, Rwabwogo agamba nti waliwo ababaka ababadde beyisa obubi ekintu ekitisiza abamu ku bantu ababadde bayitibwa mu kakiiko kano.

Rwabwogo era akukulimidde abamu ku bakulembeze nga eyali akulira FDC Dr Kiiza Besigye abagaana okulabikako mu kakiiko kano nti, basubya banna uganda omukisa okuwulira endowooza zabwe. 

Singa akakiiko kano kamaliriza emirimu gyako, Kagya kakukola alipoota, oluvanyuma ababaka bagyikubaganyeeko ebirowoozo n'oluvanyuma basalewo ku ky'emyaka.