menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 4 months 1 week ago
1,643 Views

Share this story

Okulongoosebwa kw' Omubaka Francis Zaake kuli mu lusuubo, awandiikidde sipiika
Omubaka wa Munisipaali y’e Mityana Francis Zaake eyagenda mu Minnesota ekisangibwa mu America okulongoosebwa, eby’okumulongoosa by’andigaana olw’ensimbi ezaamusuubizibwa paalamenti okuba nga ne kaakati tezinnamuweerezebwa.

Omubaka wa Munisipaali y’e Mityana Francis Zaake eyagenda mu Minnesota ekisangibwa mu America okulongoosebwa, eby’okumulongoosa by’andigaana olw’ensimbi ezaamusuubizibwa paalamenti okuba nga ne kaakati tezinnamuweerezebwa.

Ono yali yeetaaga obukadde bw’ensimbi za Uganda obukunukkiriza mu 260 oba ddoola z’America 72,473 abooluganda lwe ne bamusonderako ekitundu.

Essuubi limubadde mu nsimbi ezaamusuubizibwa paalamenti wabula azirinze tezituuka.

Mu nteekateeka y’eddwaaliro mu Minnesota ono alina kulongoosebwa ku bbalaza ya ssabbiiti agenda okutandika nga 13 kyokka eddwaaliro limwetaagisa okuba nga ensimbi zaalyo zonna nsasule.

Ono obuvune bwamutuusibwako mu kulwanagana okwali mu paalamenti, ela nga yatwalibwa emitala w’amayanja okusobola okulongoosebwa.

Bwe yatuuka emitala w’amayanja, abasawo baabalirira era ne bamutegeeza omuwendo gw’ensimbi ezeetaagisa.

Zaake agamba kimwewuunyisa okuba nga tannayambibwa era asigadde ku bwa Katonda ku embeera gy’alimu si nnungi.

Wabula, obulumi n’ebyensimbi abisimbye ku mpagi n’ategeeza nti tebijja kumuggya ku mulamwa ogw’okuwagira ekyo baakiikirira kye baagala.