menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 week 1 day ago
382 Views

Share this story

OKWEBUUZA KU BANTU: Abanene ba nrm bakomekkerezza kampeyini zaabwe
Major General Jim Muhwezi, nga ye ssentebe wa NRM chairman e Rukungiri yeyakulembeddemu bane okubunyisa enjiri y’okuggya ekkomo ku myaka gyomukulembeze w’eggwanga

Abakulu mu NRM abenjawulo bakomekkerezza enteekateeka z’okwebuuza ku bantu n’okubannyonyola obulungi obuli ku kukyusa ssemateeka okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga

Major General Jim Muhwezi, nga ye ssentebe wa  NRM chairman e Rukungiri yeyakulembeddemu bane okubunyisa enjiri y’okuggya ekkomo ku myaka gyomukulembeze w’eggwanga  

Essira basinze kulissa kukunnyonnyola bantu kiki kyekitegeeza okukyusa ennyingo 102 akawaayira b mu ssemateeka wa Uganda

Wabula ku lukungaana olumu, abantu eby’okukyusa ssemateeka babiwakanyizza

 

Ate ye ssentebe wa NRM mu bitundu bye Buva njuba Captain Mike Mukula yategeezezza abantu mu kitundu kino nga abali kuludda oluvuganya bwebaagala okweyambisa amateeka okulemesa omuntu alina embavu okutwala eggwanga lino mu maaso

 

Ono era yayambalidde banna NRM abatakoze kimala kuwagira nsonga eno

E Luweero, minisita atalina kifo kya nkalakkalira Abdul Nadduli yakomekkerezza kampeyini ze ez’okubunyisa enjiri y’okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga. Ono yategeezezza abavubuka obutawuddiisibwa bannabyabufuzi