menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 week 6 days ago
453 Views

Share this story

Kkooti y’amagye nera egaanye owa poliisi Nixon Agasirwe okweyimirirwa
Ono avunaanibwa emisango esatu egyekuusa ku kuwamba banansi bw aRwanda basatu nebaddizibwayo ewabwe gyebali badduse.

Kkooti y’amagye egaanyi okukiriza omupoliisi Nixon Agasirwe Karuhanga okweyimirirwa .

Ono avunaanibwa emisango esatu egyekuusa ku kuwamba banansi bw aRwanda basatu nebaddizibwayo ewabwe  gyebali badduse.

Kkooti y’amagye nga ekulirwa Lt Gen Andrew Gutti  egobye okusaba kwa Agasirwe  nga agamba nti baleese okumweyimira kkooti tebalabamu nsa.

Kkooti era egamba nti ono engeri gyali musirikale ku ddala erywaggulu , alina engeri gyasobola okutataaganyaamu okunoonyereza mu misango gino.

Guno gwemulundi ogwokubiri nga kkooti eno egaana Agasirwe okweyimirirwa