menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 3 months 2 weeks ago
385 Views

Share this story

Ebigezo byabayizi ba P7 abasooba mu nkumi bbiri mu bitaano bikwatiddwa
Abayiise ebigezo bali emitwalo ataano mu musanvu mu lukumi mu bibiri mu ataano mu babiri , sso nga abagudde bali emitwalo etaano mu kasanvu mu bisatu mu atano mu bana

Ebigezo bya PLE ebyomwaka oguwedde bifulumye, abayizi abatuula ebigezo, baali emitwalo nkaagamu ena mu kakaaga mu kikumi mu kyenda, kubano aba UPE oba bonna basome bali emitwalo anamu mukaaga mu kakaaga mu bibiri mu asatu mu bataano.

 

Abayiise ebigezo bali emitwalo ataano mu musanvu mu lukumi mu bibiri mu ataano mu babiri, sso nga abagudde bali emitwalo etaano mu kasanvu mu bisatu mu atano mu bana.

Byo ebigezo byabayizi ebitwatiddwa biri enkumi bbiri mu bitaano mu ataano mu mwenda.

 

Ebigezo by’abayizi enkumi bbiri mu bitaano mu ataano mu mwenda, okuva mu masomero 26, byebikwatiddwa ekitongole ky’ebigezo ekya UNEB ku bigambibwa nti benyigira mu kubba e bigezo.

 

Olwaleero ebigezo byabayizi abatuula ekibiina ekyomusanvu omwaka oguwedde bifulimiziddwa, nga abayizi abasukka mu mitwalo etaano babiggwa