Abasomesa b’e Makerere abegatira mu kibina ki MUASA bategeezezza nga okukyusa mu ssematteeka okugyawo ekkomo ku myaka gy’omukulembeze bwekiri eky’obulabe ennyo eri eggwanga era nga tekyetaagisa.
Ssentebe w’ekibiina kino Dr. Muhammad Kiggundu , bino abitegeezezza bannamawulire olwaleero, mu lukiiko lwelumu absomesa mwebasinzidde okusaba alipoota yakakiiko k’omugenzi Dr Abel Rwendeire eyanoonyereza ku mivuyo mu yunivasite eno efulume.