menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 month 4 days ago
930 Views

Share this story

Bannaddiini bagala ekisanja ky’emyaka omusanvu kikubweko akalulu k'ekikungo
Ssentebe w'olukiiko olugatta enzikiriza ez’enjawulo olwa Inter religious council era Mufuti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubaje ategezezza nga obuyinza okusalawo ku nsonga nga zino bwebuli mu mikono gy’abannayuganda ssi babaka ba palamenti ab’olubatu.

Bannadiini bategezezza nga ensonga y’okwongeza ekisanja ky’emyaka gy’omukulembeze w’eggwanga , n’ababaka ba palamentii okuva ku etaano okudda ku musanvu bwesaana okuddizibwa eri bannayuganda beebaba basalawo nga bayita mu kalulu k'ekikungo.

Ssentebe w'olukiiko olugatta enzikiriza ez’enjawulo olwa Inter religious council era Mufuti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubaje ategezezza nga obuyinza okusalawo ku nsonga nga zino bwebuli mu mikono gy’abannayuganda ssi babaka ba palamenti ab’olubatu.

 

Bino Mufuti abitegeezezza bannamawulire mu kampala mu kutongoza ebbaluwa y'abasumba egendereddwamu okumanyisa bannayuganda engeri y'okukwatamu ensonga z'ebyobufuzi ezigenda mu maaso.