menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 month 4 days ago
2,197 Views

Share this story

Wuuno Omusajja atawena, awasiza embaga abakazi basatu omulundi gumu
Ssalongo Muhammed Ssemanda omutuuze w’e Nkumba Bbendegere mu Katabi Town Council oluvannyuma lw’okuwoowebwa yeebazizza Allah olw'abakyala bano abamwagala okamala yadde nga talina nsimbi nyingi.

Abatuuze  ku mwalo e Kasenyi mu Katabi Town Council bawuniikiridde munnaabwe bwasazeewo okuwasa abakyala basatu omulundi gumu okumenya likodi mu kitundu kino!

Ssalongo Muhammed Ssemanda ow’emyaka 50 enzaalwa y’okukyalo Kitosi mu ggombolola y’e Kyamuliibwa e Masaka ng’akola gwa kutunda matooke ku mwalo e Kasenyi yawasizza abakyala abasatu n’aleeka abantu ga bamunyenyeza mitwe n’abawuulu okukuba emimiro.

Bakira obwedda asaaliza abangi, Ssalongo Muhamad Ssemanda alese bangi bamutenda. 

Ku bakyala abawasiddwa babiri baaluganda okuli mukyala mukulu  Salmat Naluwugge ow’emyaka 48 ne Jameo Nakayizza ow’emyaka 27 nga kwogasse  Mastula Namwanje 24 nga ye mukyala muto.natAbakyala bano abanyumidde mu kadaali, akamwenyumwenyu obwedda tekabava ku matama.

Abatuuze eno embaga bagiyise yakyasa. 

Bano baasoose kuwoowebwa Sheikh Swalehe Mugenyi mu maka ga Sophia Namaalo e Nkumba Kavundiira oluvannyuma ne basembeza abagenyi baabwe ku Local Beach ku mwalo e Kasenyi wakati mu nduulu ey’oluleekereeke.

 

Ssalongo Muhammed Ssemanda omutuuze w’e Nkumba Bbendegere mu Katabi Town Council oluvannyuma lw’okuwoowebwa yeebazizza Allah olw'abakyala bano abamwagala okamala yadde nga talina nsimbi nyingi.

Ye mukyala mukulu Salmat Naluwugge ayaniriza banne n’ategeeza nga bwagenda okwongera okubabangula ku ngeri yokwagalamu bba waabwe.