menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 5 days 15 hours ago
587 Views

Share this story

Ab’enakaseke bazzeemu okusattira olw’ekilwadde kya Congo Crimean Hemorrhagic Fever
Kino kyaddiridde okufa kw’omwana BridgetNalunkuuma owemyaka 9, abadde abeera mu maka gano agasangibwa e Buswagiro mu town council ye Butalangu, district ye Nakaseke.

Ku lw’okuna lwa wiiki ewedde abakulira disitulikiti ye Nakaseke bavaayo nebasaba minisitule y’ebyobulamu etangaaze ku kubalukawo kw’ekirwadde ki Congo Crimean Hemorrhagic Fever ekyali kyeyolekedde mu bubonero kw’omu ku balwadde mu ddwaliro lye Kiwoko

 

Omulwadde ono yali ayawuliddwa ne mubalala okwongera okwekebejjebwa abakugu 

 

Amawulire gano minisitule y’ebyobulamu yayanguwa mangu okugasambajja ng’egamba nti kwali kusasamaza ggwanga

 

Nga waakayita wiiki emu okuva minisitule y’ebyobulamu lweyakasa eggwanga nti ekirwadde kino tekiriiyo abe Nakaseke ate bazzeemu okusattira

 

Kino kyaddiridde okufa kw’omwana BridgetNalunkuuma owemyaka 9, abadde abeera mu maka gano agasangibwa e Buswagiro mu town council ye Butalangu, district ye Nakaseke.

 

Okusinziira ku baabadde abeera nabo tewaabadde kinene kiruma Nalunkuuma wabula ekimbe kyamugwiridde mu bwangu era nga tewaayise kaseera naafa

 

Abasawo baasindikiddwa mangu okwekebejja omulabo gw’omwano ono era nga okusinziira ku byazuuliddwa wandibaawo obubonero obwongera okukakasa nti ekirwadde ki Congo Crimean Hemorrhagic Fever kiri mu kitundu kino. 

Abenganda za Nalubwama tebakkiriziddwa na kukwata ku mulambo gwaziikiddwa mu kiro ekyo mu bitundu bye Luweero.

 

Dr. Ssesimba agamba omusaayi ogwaggyiddwa ku mugenzi gwatwaliddwa mu Uganda Virus Research Institute okwongera okwekebejjebwa. 

Bbo abatuuze n’abakulembeze mu kitundu Kino wetwogerera ng’emitima gibeewanise

 

Ensonga eno omubaka w’e Nakaseke South Lutamaguzi Ssemakula y’atuuka n’okugyanja mu palamenti ku lwokubiri lwa wiiki eno era nategeeza nga abakulu mu minisitule ey’ebyobulamu bwebatasaana kugitunuulira kyamuli

 

Ekirwadde ekyogerwako kyatta abantu munaana mu mwezi gw’omwenda omwaka oguwedde era kiva kunkwa ogubeera kunte eranga kyeyolekera mu musujja ogwamaanyi, okusesema nokuddukana omusaayi, okutuuyana omusaayi, ssaako nokubulwa apetite.

 

Mu bantu ekirwadde kino kikwatira mu ntuuyo n’amalusu era ng’omuntu asobolaokukifuna singa okwata ku mulwadde aba akirina.