menu

Mobile Search

You are here

You are here

Abakugu bali ko bye batangaazizza ku nsigo enjiiye
Dr Ambrose Agona omukugu mubyobulimi era nga y'akulira ekitongole kyebyobulimi ki National Agricultural Research Organisation NARO agamba tekinologiya ono akozesebwa mukukola eddagala erikozesebwa okugema abaana enddwadde nga measles, akafuba nebirala.

Bwoyogera ku nsiggo enkolerere bangi kubanauganda kyebasinga okumanya z'ensiggo ez'ebirime, kyoka tebamanyi nti tekinologiya ono akozesebwa nnyo mubyobulamu.

 

Dr Ambrose Agona omukugu mubyobulimi era nga y'akulira ekitongole kyebyobulimi ki  National Agricultural Research Organisation NARO agamba tekinologiya ono akozesebwa mukukola eddagala erikozesebwa okugema abaana enddwadde nga measles, akafuba nebirala. 

 

Bano webasinziira nebategeza nti omuntu bweba basobola okumutekamu eddagala erimusobozesa okulwanyisa enddwadde ekintu kyekimu kyebagala okukola mubimera n'emubisolo. 

 

Okunonyereza kwebakoze kulaga nti bafuna ensiggo okuva mu kamulali nezitekebwa mu bitooke era ebotooke byebafuna bisobola bulungi okulwanyisa obulwadde obukwata ebitooke. 

 

Mu desemba w'omwaka oguwedde pulezidenti Museveni yagaana okusa omukono ku bbago eryali ligenderedwamu okulambulula enkozesa y'ensiggo enkolerere nga alina byeyemulugunya era nalizaayo mu palamenti.Dr James Nsaba Buturo y'omu kubabaka abasimbidde ebaggo ekkuuli. 

 

Pulezidenti agamba nti lino bweriba wakulisaako omukono balina okumukakasa nti ensiggo ennansi tezigenda kusanyizibwa. Banasayansi bamwanukudde. 

 

Okubaganya ebilowozo ku tekinologiya ono nga kugenda mu maaso banasayansi w'ebyobulimi bagamba nti banabyabufuzi abatamanyi byasayansi berimbise mubyebatategera ekigenda okuzingamya ebyobulimi mu ggwanga nga kyandiremesa okutuusa uganda kukigendererwa kyaayo ekyokugagawaza banauganda.