menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 3 months 1 week ago
886 Views

Share this story

Ebifo 8 ebyafuuka akattiro n’obubbi bwa boda-boda mu Kampala
Dezideliyo Byamukama nga wamyaaka 28, yali muvuzi wa boda boda mu bitundu bye Makindye, nga ono yategebwa abanyaguluzi abamutemako emikono nebakulita ne pikipiki ye.

Dezideliyo Byamukama nga wamyaaka 28, yali muvuzi wa boda boda mu bitundu bye Makindye, nga ono yategebwa abanyaguluzi abamutemako emikono nebakulita ne pikipiki ye. 

 

Enkovu eziri ku  Byamukama kyeraga lwatu nti ono emagombe yasimbayo kitooke.

 

Ono alumiriza nti wadde abamutuusa ku kino  abamanyi tanaffunanga  bunkwenya.

 

Byamukama yabadde omu ku bavuzi ba BodaBoda abetabye mulukiiko lw’abakulira ekiwayi kyaaba boda boda ki Century riders association olwatudde mu kampala olunaku lwegulo.

 

Era nga mulukiiko luno aba BodaBoda  bamenyedde ebifo ababbi ba bodaboda mwebafumbekedde mu Kampala. 

Bano bagamba  poliisi tekoze kimala kulwanisa bumenyi bwamataeeka mu boda boda, ekituntu omwogezi wa poliisi Mukamapala kyasamabaze. 

 

Mu biffo bino kuliko olwa Sir Apollo Kagwa, Hoima Road, Acicia, Cheze Johnson saako nemubitundu bye Katwe.

 

Tutuseko mu biffo bino, aba BodaBoda abakulere mu biffo bino nebatubulira obukodiyo arabi bwebakozesa.

 

Wabula bano balumiriza abatuuzi basipaya wa BodaBoda mu biffo nga e Katwe okwekobana nababi okubako bodaboda zabwe.

 

Nga nabwekityo basabye poliisi okubakolamu ebikwekweto.

 

Wabula bwetukiridde abatuunzi ba BodaBoda e Katwe bino babisambazze, nebategeza nga sipeya gwebatunda wali mu makubo agatamenya mateeeka.

Ekiba BodaBoda bagamba okukimalawo abazivuga saako nabatunda sipeya balina kwasiza wamu.