menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 3 months 1 week ago
839 Views

Share this story

Omukozi wa KCCA attiddwa omulambo negusulibwa mu mufulejje e Bwaise
Omulambo gwa Sarah Nakanwagi gusangiddwa guli bukunya ekiteeberezebwa nti abaamusse bandiba nga basoose kumukaka mukwano kirindi oluvanyuma nebamutta.

Ekikangabwa kino kigudde mu zooni ye Bugalani e Bwaise nga era abatuuze ababadde ku gaabwe bebagudde ku mulambo guno.

 

Omulambo gwa Sarah Nakanwagi  gusangiddwa guli bukunya ekiteeberezebwa nti abaamusse bandiba nga basoose kumukaka mukwano kirindi oluvanyuma nebamutta. 

 

Poliisi ekozesezza embwa zaayo enkonzi z’olusu okunonyereza era n’ekwata abantu babairi abaktakuumibwa ku poliisi ye Kawempe nga okunonyereza bwekugenda mu maaso.

Wabula abamu ku batuuze batabukidde poliisi nga bagineneya obutakola kimala  kukuuma kitundu kyabwe nebemalira ku kukwata banaabwe obwakileeleese.

 

Oluvanyuma poliisi etutte omulambo gwomugenzi mu ddwaliro ekkulu e Mulago okwongera okwekebejebwa nga n’okunonyereza bwekugenda mu maaso.

 

Omwaka oguwedde ekitta bakazi kyakyaka nyo naddala mu bitundu by’Entebeb ne Nansana nga n’okutuusa kati poliisi ekyanonyereza.