menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 3 months 1 week ago
587 Views

Share this story

Omusajja ow’emyaka 44 asinze muwala we mu mubigezo bya PLE
JohnBosco Mutebe nga ye Ssentebe wa Bwagusa zone e Namwendwa mu disitulikiti ya Kamuli yakoonodde obubonero 26 mu bigezo by’ekyomusanvu ebyaakomyewo olunaku lwe ggulo era nga muwalawe gwabadde asoma naye ye yafunye 29.

Kwabadde kusanyuka, kucacanca na mizira mu maka ga John Bosco Mutebe ssentebe wa Bwagusa Zone mu Ggombolola ye Namwendwa mu disitulikiti ya Kamuli bweyabadde ayanjulira abantube ebyavudde mu bigezo by’ekyomusanvu byeyatuula omwaka oguwedde.

 

Ono ow’emyaka 44, alina abaana 14 era nga yafunye obubonero 26

 

Ono ebigezo yabituula ne muwalawe Elizerbeth Nambi era gweyasinze okukola obulungi ebigezo nga ye yafunye obubonero 29.

 

Kati bano bombi baagala kweyongerayo mu siniya ku ssomero lya St. peters e Namwendwa abamu kubaanebe abakulu gyebasomera era nga alina nebigendererwa ebirara mu kino.

 

Abatuuze nabo basanyukidde ekikolwa kino.

 

Mutebe agamba nga ssentebe ayagala kubeera kyakulabirako.

 

Ekirooto kyono ky’ekumala siniya eyookuna agende mu ttendekero akuguke mu by’obulimi.