menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 6 months 1 week ago
609 Views

Share this story

Ebya Massa bya mpuna: Poliisi emuwaddeko obujulizi
Poliisi etukakasizza nti mu kiro ekikeesezza olwaleero yakubye motoka ye yali kapiteeni Uganda Geoffrey Massa amasasi mu mipiira nga egenderera okumuyimiriza.

Poliisi etukakasizza nti mu kiro ekikeesezza olwaleero  yakubye motoka ye yali kapiteeni  Uganda Geoffrey Massa amasasi mu mipiira nga egenderera okumuyimiriza.

Mu motoka eno mwabaddemu  mukwano gwa massa  Josephine Maliza  era erimu ku masasi lyamukutte nga kati ali mu ddwaliro e Bweyogerere.

Bino byabadde Namboole ku flyover. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Emillian Kayima agamba nti embeera eno yavudde ku patrol Patrol  ya poliisi okwekengera motoka eyabadde eyimiridde ebbali w’ekkubo era bwebagezezaako okumanya ebigikwatako Massa nasimbula emisinde.