menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 week 3 days ago
329 Views

Share this story

Afande Bakaleke n’abalala banoonyerezebwako ku bigambibwa nti bajja ku bamusiga nsimbi ssente zabwe
Ekitongole kya poliisi ekikwasisa empisa kiri mu kunonyereza ku basajja bakyo abagambibwa okuba nga baliko emivuyo gy’ebenyigiddemu nga oba oli awo baliko ba musiga nsimbi bebayinza okuba nga bafeze.

Enkya ya leero, emikutu gy’amawulire egy’omutimbagano oba gyiyite social media, gyikedde kufulumya mawulire agalaga nga abanene mu poliisi bwebakwatiddwa olwokufera ba musiga nsimbi okuva mu ggwanga lya South Korea. Ku mikutu gya social media, obwedda bategeeza nga omuduumizi wa poliisi y’omumaserengeta ya Kampala Siraje Bakaleke bweyakwatiddwa edda abitebye.

 

Yadde ensonga zino nga bwezayogeddwa ssi bweziri, awali omukka tewabula muliro.

Olwaleero, omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekikwasisa empisa Vincent Ssekate ategezezza nga omuduumizi wa poliisi mu maserengeta ga Kampala Siraje Bakaleke n’abakulu abalala abamuddirira okuli DPC ne OC CID nga bwebayitiddwa olunaku lw’eggulo nebabulirizibwako ku nsonga ezekuusa ku by’okufulumya ba musiga nsimbi okuva mu ggwanga mu ngeri etali mu mateeka era nga waliwo n’ebiyitingana nti bano basooka kugyibwako ssente olwo nebagala okubafulumya mu mankwetu okubuza obujulizi.

 

Ssekate ategezezza nga bwewaliwo abaserikale bana abakwatiddwa nga kati bali Nalufenya nga bano bebakwatiddwa lubona nga bafulumya ba musiga nsimbi bano ku kisaawe entebe mu ngeri eyamankwetu.

 

Ba musiga nsimbi bano nga tebannakakibwa kufuluma ggwanga, kigambibwa nti abaserikale abaabakwata bandiba nga baliko ekifo ekikusifu gyebabasibira mu kifo ky’okubatwala ku poliisi ye Katwe gyebaali balina okugenda wabula nga Ssekate agamba nti bakyanonyereza okuzuula ekituufu.

 

Omuserikale wa poliisi Muhammad Kirumira nga kati ali mu kuwerennemba n’emisango omuli n’egyokwonona erinnya lya poliisi azze akyogera lunye nga mu poliisi bwemujuddemu abamenyi b’amateeka nga n’abasinga basirikale ba mayinja wabula nga kino poliisi ekiwakanya.