menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 week 3 days ago
365 Views

Share this story

Ekyappa kya Minisita Kibuule ku ttaka ly’e Buikwe kyakusazibwamu
Minisitule y’ebyetataka nga eyiita mukitongole kyayo ekiwadiisa ettaka, esazizamu ebyapa byona nga n’ekyaminisita Ronald Kubuule mwokitwalidde ku ttaka erirude nga liriko okusiiika omuguwa mu kitundu kye Kigaya- Golomolo ekisangibwa mu Disitukiti eye Buikwe.

Okutuuka ku kusalawo kuno kyadirira Buganda Land Board kulw’abantu abali kuttaka lino okwekubira enduulu mu Minisitule y’ebyettaka okunonyereza kubayiita bananyini ku ttaka lino, abali batadiiise okubasenza akati.

Nga kino kyawalirizza minisitule yebyettaka okuttakawo olukiiko okuwulira enjuyi zombiriri ku nsonga eno, era nga mulikiiko olwasoka basaba enjuyi zombiriri okuleta ebiwadiiko ebiraga obwananyini ku ttaka lino.

Era Mulukiiko olwokubiri nga lwelutudde olwaleero, banamateeka ba Minisita Kibuule ababadde basubirwa okuleta obukakafu nti, bebananyini ttaka balemeredwa.

Ekiwaliriza Minisitule y’ebyattaka okulangirira nga Buganda Land Board bwerinanyini wettaka lino mu matteka.

Akubiriza olukiiko luno nga yakulira n’okuwandiisa epyapa mu minisitule yebyettaka Joseph kibande nalangirira nga buli kyapa ekyafulumizibwa ku ttaka lino erye Golomolo mu Buikwe nga ogyeko ekya Buganda Land Board bwebiri ebiffu.

Okusalawo kuno ku kyamudde abantu abali ku ttaka lino nga nabo babademu mu lukiiko luno, nebatendereza Buganda Land Board okubadukirira nebawayonya ekibba ttaka.

Okusalawo kuno tekusanyudde banamatteka ba Minisita Ronald Kibuule nga bakubye ebituuli mu kusalawo kino.

Nabwekityo bawezze okwongera ensonga eno mu mbuga zamatteka.

Ettaka lino erirudde nga liriko okusiika omuguwa liwerera daala acres 85, nga Minisita Ronald Kiibuule gwerivudde mungalo yaligula ku Musa Katerega.