menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 week 3 days ago
182 Views

Share this story

Ensonga za Kirumira zitandise okuwulirizibwa mu kkooti ya Buganda road
Oludda oluwawaabirwa lusabye omulamuzi wa kkooti esookerwako ku Buganda Road okugoba omusango guno kubanga Kirumira yaloopa mu kkooti nkyamu etalina buyinza kusalawo ku nsonga nnene ng’eno.

Mu kkooti esookerwako eya Buganda Road, Muhammad Kirumira gyeyawaabira gavumenti ya kuno nga agiranga okumukuumira mu kadukulu mu ngeri emenya amateeka era nga asaba ayimbulwe awatali kakwakkulizo konna.

 

Ab’oluganda lwe nga bakulemberwamu kitaawe Abubaker Kawooya webakedde okugumba, okuwulira ekinaava ew’omulamuzi wa kkooti eno Robert Mukanza.

 

Oludda oluwaabi lukiikiriddwa Jude Mbabali, so nga Jonathan Muwaganya y’abaddewo okulaba nga gavumenti tegukikka mu vvi.

Wabaddewo okweleega emiwula gy’obwongo wakati wa ba puliida bombi nga buli omu ajjuliza amateeka gegamu okukakasa ensonga.

 

Awolereza gavumenti Jonathan Muwaganya atuuse n’okutegeeza omulamuzi nti kkooti gy’alamula terina na buyinza bwetengeredde okuwulira ensonga ennene ng’eno egwaniidde okuwulirwa kkooti enkulu beppo n’etaputa ssemateeka.

 

Ono ajunguledde n’ebyayogerwa abawawaabirwa mu kirayiro kyebaakuba eri kkooti, nti kirumira ono yasibwa mu bukyamu kubanga ne mukukwatiibwa okuggyibwa ewuwe yatuusibwa mu kkooti awoze emisango era oluvannyuma n’atwaliibwa ku limanda ng’etteeka bweriragira.

 

Takomye awo alumirizza nti Kirumira ono si muntu wa bulijjo nga abangi bwebalowooza nga n’olw’ekyo mu kkooti ya polisi alina kuyisibwa bulala.

 

Kyokka puliida wa Kirumira, Jude Mbabali anafunyizza munne, bw’amujjukiza nti buli ky’akolebwa okuva Kirumirwa lweyakwatiibwa nga 1 February kyali kimenya mateeka.

Kirumira yakwatiibwa DPC w’e Wakiso kyokka nga akawayiiro namba 56 mu tteeka erirungamya poliisi ono yali alina kukwatiibwa muntu amusinga ku mayinja.

 

Mbabali era alumiriza nti etteeka lya poliisi ly’erimu mu kawayiiro namba 25 litegeeza nti omunt yenna okukwatiibwa alina okuggulwako emisango, ekintu ekitaakolebwa ku mulundi guno Kirumira bweyakwatiibwa nga nebweyatwaliibwa mu kkooti ate baamusomera misango mikadde.

 

Akawayiiro kekamu era kalagira nti omuntu akwatiiddwa awatali kibaluwa ki bakuntumye alina kutwaliibwa mu kkooti esookerwako sso si eya poliisi nga bwekyakolebwa ku Kirumira.

Kino era kiba kimenyawo ebya Muwaganya by’ategezeezza omulamuzi nti kkooti ye terina buyinza buwuliriza musango guno.

 

Omulamuzi Robert Mukanza, enjuyi zombi aziwulirizza bulungi kyokka n’abalagira okudda enkya okwongera okuwulira ensonga zino.

Olunaku lw’eggulo, Kirumira obudde bwayongedde okumudugalira, Kkooti ya poliisi bweyamutereeddewo obukwakkulizo obuzibu okutuukiriza alyoke akkirizibwe okweyimirirwa.

Ono yatabukiddeyo n’atuuka n’okulangira abakulu mu kkooti ne poliisi okumufuula nabyewanga nga akaliga akaliira mu nte era n’addizibwa e Nalufenya agire nga awummula.