menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 week 3 days ago
250 Views

Share this story

Omutendesi wa Uganda Desabre agamba abazannyi ba Cranes babulamu
Dasabre agamba nti kirabu abazannyi banno mwebasambira mu liigi y’eggwanga zezirina okukola omurimu ogwamanyi okulaba nga zibakoseza duyiiro asanidde okugumya emibiri gyabwe.

Omutendesi wa ttimu y’eggwanga the Uganda Cranes Sebastien Desabre ajereze abazannyi ba Uganda nagamba nti omutindo gwabwe gwa kibogwe, ekyabavirako okuwangulwa mu mpaka za CHAN ezakagwa mu ggwanga lya Morocco.

Ono Uganda olwanduka mu mpaka zinno nakwatirawo enyonyi nagenda ewabwobwe mu buafalansa gyeyavudde ku nkomerero ya sabiiti ewedde nkawomu mu ggwanga.

 

Ttimu ya Uganda Cranes nate yayolesa obunafu  mu mpaka za CHAN ezali mu ggwanga lya Morocco oluvanyuma lw’okuwangula emipiira ebiri ate nemeganwa mu gwasembayo.

Kinno omutendesi Sebastien Desabre akitesse  ku bunafu bwemibiri gya bazannyi bwagamba nti bwebavirangako okupondoka mu kitundu eky’okubiri wadde nga mu kitundu ekisooka mu mipiira gyona basamba nga bulungi.

 

Dasabre agamba nti kirabu abazannyi banno mwebasambira mu liigi y’eggwanga zezirina okukola omurimu ogwamanyi okulaba nga zibakoseza duyiiro asanidde okugumya emibiri gyabwe.

Ono yewadeyo okukyali kirabu ezenjawulo mu kutendekebwa kwazo okusobola okutizaako abatendesi abajenawulo mu mulimu gunno.

 

Ye President wa Mosese Magogo agamba FUFA yakutekateka olusirika e Nambole okuroworeza ebisera by’mupiira eby’omumaso.

 

Ono atub ulidde nti abazannyi ba ttimu y’eggwanga amakumi atanno nabo bakutandika okufuna omusala ogwa buli mwezi okutandika n’omwezi oguwedde.