menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 4 days 17 hours ago
342 Views

Share this story

Okwediima kw’abasawo: Aba Medical Workers Union babatutte abasawo mu kkooti
Aba Medical Worker's Union bagala aba Uganda Medical Association bannyonnyole omulamuzi lwaki baava ku mirimu mu ngeri emenya amateeka.

Ebibiina ebibiri ebitakabanira eddembe ly’abasawo okuli Uganda Medical Association ne Uganda Medical Workers Union byongedde okukubagana empawa ku ngeri akediimo k’abasawo gyekakwatiiddwamu.

Uganda Medical Workers Union, olwaleero ekubye mu mbuga z’amateeka abasawo abeegattira mu Uganda Medical Association ng’eyagala bajje babinnyonnyole omulamuzi lwaki baava ku mirimu mu ngeri emenya amateeka.

Abakulu bano era baagala gavumenti eyimirize entekateeka zonna z’erina okusisinkana abasawo abali mu kwediima.