menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 month 2 days ago
5,704 Views

Share this story

Bobi Wine obubaka bweyatadde mu nnyimba bwabadde buzito
Nnamungi w'abantu abeeyiye mu kivvulu ky'omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi oba Bobi Wine baafundikidde olulimi banyumya lwa byabufuzi

Nnamungi w'abantu abeeyiye mu kivvulu ky'omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi oba Bobi Wine baafundikidde olulimi banyumya lwa byabufuzi oluvannyuma lwa poliisi okulabula nti ekivvulu kisigale ku mulamwa gwa kusanyusa.

Bangi ku beetabyemu wali e Busabala ku one love beach baalabiddwako n'obuwero obumyufu mu mitwe enkola eyeyambisibwa ensangi zino okuwakanya eky'okukwata ku ssemateeka okujja ekkomo ku myaka gy'omukulembeze.