menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 4 months 1 week ago
428 Views

Share this story

Ensonga z’ettaka: Katikkiro ayagala wateekebwewo kkooti ez’enjawulo
Olukiiko lwa Buganda lwagala wateekebwewo kkooti ez’enjawulo ezinagonjoola ensonga z’okuliriyirira bannanyini ttaka ssinga gavumenti eba eryetaaze okukolerako pulojekiti zaayo.

Olukiiko lwa Buganda  lwagala wateekebwewo kkooti ez’enjawulo ezinagonjoola ensonga z’okuliriyirira bannanyini ttaka ssinga gavumenti eba eryetaaze okukolerako pulojekiti zaayo.

Bino weebijjidde nga gavumenti kyejje eyanjulire palamenti ennongoosereza mu tteeka ly’ettaka, mweyagala okuyisiza akawaayiro akagiwa obuyinza okwezza ettaka ssinga eba erina kyeyagala okulikolerako, naye nga waliwo okuguguba okuva mu nnannyini lyo. 

Mu Lukiiko lwe lumu era embalirira ya Buganda ey’omwaka 2017/2018 essomeddwa nga yaakumalawo obuwumbi 74 n’obukadde 178.