menu

Mobile Search

You are here

You are here

Waliwo abakubye ttooki mu bbaluwa ya afande Kayihura kuby’obukuubagano mu by’okwerinda
Omubaka wa Munisipaali y’e Kira era nga ye Nampala w’oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti Ibrahim Ssemujju Nganda agamba nti wakwanja ekiteeso mu palamenti ekyokussaawo akakiiko aketongodde okunonyereza ku bukubagaano obuli mu bitongole byokwerinda bwagamba nti bweyongera buli lukya.

Mu baluwa eyafuluma nga enaku z’omwezi 21 omwezi guno gwenyini, Ssabaduumizi wa Poliisi Kale Kaihura yategezanga wewaliwo abasirikale abagufude omuze okuwayo amawulire mu bitongole byokwerinda ebirala mu ngeeri etaali ntongole.

Mu baluwa yemu  eyatekebwako omukono gwa Ssabaduumizi wa poliisi Kale Kaihura, yalambika nga ebitongole bino byatamenya bwebiyita abasirikale mungeri etali ntongole okubabuza ku nsonga ezitali zangyawulo.

Mukiwandiko kino abasirikale abenetantala nebagenda mu maaso nenkola eno bakukangavulwa nga abateeeka ga poliisi bwegagamba.

 

Okusinzira ku Egesa nga mu kukugu byokunonyereza nebyokwerinda agamba kano kabonero akekukunala nti obutakwatagana mu bakulu mu byokwerinda bweyogedde ekintu kyebagamba ekyobulabe eri egwanga.

Nabwekityo ono alabudde ku kabatte akayinza okuva mubutakwatagana buno, ekituntu omwogezi wa poliisi Emilian Kayimma kyawakanyiza.

 

Yye omubaka wa Kira Municipali  nge ye Nampala w’oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti  Ibrahim Ssemujju Nganda obukubagano buno bwaditabangula ebyokwerindfa bye gwanga.

 

Nabwekityo ono ategezeza nga bwagenda okwanja ekiteeso mu  palamenti wiiki egya, okutekawo akakiiko aketongodde ku bukubagano mu byokwerinda mu gwanga.

 

Kufunda ezengyawulo abakulu abakulira ebitongole byokwerinda ebitali bimu, bazze bakidingana nga bwewatali bukubagano mu bakulu oba ebitongole byokwerinda ebyengyawulo mu gwanga.