menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 week 4 days ago
562 Views

Share this story

EMIVUYO GY’ETTAKA: Eyali ssabawolereza nyombi waliwo byalina okunyonyola
Eyali Ssabawolereza wa gavumenti mubyamatteeka Peter Nyombi anokodwayo mu kakiiko kebyettaka nti aliko emivuyo gyeyakola mukusasula bananyini ssomero lya Ngabo Academy erisangibwa e Mbarara ku ttaka ly'ebaali batalinako bwananyini.

Eyali Ssabawolereza wa gavumenti mubyamatteeka Peter Nyombi anokodwayo mu kakiiko kebyettaka nti aliko emivuyo gyeyakola mukusasula bananyini ssomero lya Ngabo Academy erisangibwa e Mbarara ku ttaka ly'ebaali batalinako bwananyini.

Akakiiko k'omulamuzi Catherine Bamugemereire kagudde ku bbaluwa eraga nga Nyombi yawa okuwabula ekitongole ekikola kuby'enguundo ki Uganda National Roads authority okusasula akawumbi kamu mw'obukadde bisaatu.

Ekitongole ky'enguudo kitegeza nti newankubadde baali tebakiriziganya nakuwabulwa kwa Nyombi baali tebayinza kumuwakanya.

Olunaku lw'eggulo munnamaggye eyawumula capt David Bashaija yakwatidwa akakiiko kubigambibwa nti ono yeza ettaka ly'ekitongole ky'ebyobulimi erisangibwa e Mbarara.

N'olwaleero nga akakiiko kagenda mu maaso okubuliriza ku ttaka ly'erimu,  kizulidwa nti  ekitongole ekikola kubyenguudo ki  Uganda National Roads authority bweyali kitema oluguudo mu ttaka eryali litwalidwa Capt Bashaija yasaba asasulwe akawumbi kamu mw'obukadde bisaatu.

Akakiiko k'omulamuzi Catherine Bamugemereire kagudde ku bbaluwa eraga nga eyali ssabawolereza wa gavumenti mubyamatteeka Peter Nyombi Nyombi yawa okuwabula ekitongole ekikola kuby'enguundo ki Uganda National Roads authority okusasula sente mubumenyi bwamatteeka.

Kino kyakolebwa nga ate akakiiko k'ebyettaka aka Uganda Lands commission kaali kamaze okuwa ensala yaako nti Ngabo Academy yali terina bwananyini ku ttaka era nga ne liizi eyali ebaweredwa eyemyaka ettaka yali yagwako.Akakiiko kakizudde nti n'omukungu mu kitongole ky'enguundo ategerekese nga George Bwanga aliko ebbaluwa gyeyawandiikira Nyombi nga awakanya byeyali asazewo kyoka teyamuwuliririza.

Akakiiko era k'ewuunya Capt Bashaija gyeyasasurwamu akawumbi kamu mw'obukadde bisaatu ku yiika zettaka saatu zokka ate nebasasula ekitongole ky'ebyobulimi akawumbi kamu mw'obukadde bitaano ku yiika z'ettaka 22.Eyapunta ettaka eryogerwako Mituseera Katushabe akakiiko kamukute kubigambibwa nti ono yandiba nga yekobaana ne Capt Bashaija okunyagulula sente za gavumenti.Wiiki egya akakiiko kagenda mu bitundu bya Bugisu e Mbale nayo okutaganjula emivuyo gyebyettaka ejiriyo.