menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 2 weeks 3 days ago
407 Views

Share this story

Ababundabunda baanyolanganye ne poliisi e Kyegegwa
Wabalusewo obutakanya wakati wabakulira enkambi ya babundabunda eya Kyaka 11 mu disitulikiti ye Kyegegwa nababundabunda abawangaliramu nga entabwe eva ku bakulu mu nkambi eno okwagala okumenya agamu ku mayumba g’abamu ku banoonyi bobubuddamu.

Abamu ku babaundabunda baatwaliddwa mu ddwaliro lya Bujubuli Health Center III okujanjabibwa olwobuvune bwebaafunye oluvanyuma lwa poliisi okukuba amasasi mu bbanga okukkakanya embeera.

Bano bagamba abaddukanya enkambi eno baagala kutunda ttaka kwebali wabula Kamissiona okuva mu ofiisi ya ssabaminisita  Charles Bafaki atutegezezza nga abamu ku banoonyi bobubudamu bwebazimba amayumba agenkalakalira ekikontana n’amateeka g’ababundabunda.