menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 2 weeks 3 days ago
731 Views

Share this story

Omwana asobezeddwako nattibwa e Mityana, abatuuze basse gwebateebereza okukikola
Ekikangabwa kyasanikidde abatuuze bokukyalo Lubanyi ekisangibwa mu gombolola eye Bulera mu disitulikiti eye Mityana oluvannyuma lwokusanga omwaana wamunabwe nga yasobezeddwako noluvannyuma nattibwa .

 Ekikangabwa kyasanikidde abatuuze bokukyalo  Lubanyi ekisangibwa mu gombolola eye Bulera mu disitulikiti eye Mityana oluvannyuma lwokusanga omwaana wamunabwe nga yasobezeddwako noluvannyuma nattibwa . 

Bino byatuseewo mukiro ekikesezza olunaku lwaleero abazigu bwebayingiridde amaka ga Lawrence Byomuhangi omutuuze wokukyalo Lubanyi nebajjayo omu kubaanabe owemyaka omwenda nebamutwaala mu nnimiro nebamusobyako noluvannyuma nebamutta 

 Maama womugenzi Molly Mugabiigwe yatutegeezezza nti omwaana wabwe webamutwalidde babadde bagenze mukusaba okwekiro mukanisa eyabalokole esangibwa mu kitundu ekyo  kinnya nampindi okuva amaka gabwe wegali .

Abazadde babadde bakyali mukusaba kwekulaba abaana abato nga nabo babegaseeko kyokka okubabuuza mukulu wabwe nga tebanyega kwekutandika okumunoonya ku saawa nnya ezekiro kyokka nebatamulaba .Webukedde omuyiggo negugenda mumaaso nga kwegaseeko nabamu kubatuuze webazuulidde nti yattiddwa oluvannyuma lwokusobezebwako.

Omulambogwe gubadde guvaamu omusaayi mubitundu ebyekyaama nga guli munnimiro eliraanye amaka gabwe nga guliko namatatu  

Bano batemezza ku poliisi ye Bulera oluvannyuma nayo eyise eyeMityana nejja nembwa yayo ekonga olusu . 

Omusawo wa poliisi bweyamaze okwekebejja omulambo gwomugenzi nakizuula nti omwaana yamaze kusobezebwako nga tannaba kuttibwa .

Embwa bwenonyezza eliko akayumba komu kubavubuka ategeerekeseeko erya Kaweesa kyokka ye tabaddewo.

Kino kyongedde okusaanula abatuuze nebatandika okumuyigga gyebamusuubiriza kyokka abalala nebasigala kunnyumba embwa weyakomye .Poliisi egoberedde abegenze okunoonya omutemu wabula nebagibulako era egenze okuddamu okumaka webali nga bamusse .

Abasigadde kunnyumba nabo bagikoonye nebintu nebabikumako omuliro .

Emilambo gyombi gitwaliddwa mu ddwaliro ekkulu erye Mityana gyekebejjebwe noluvannyuma giweebwe abenganda bakole kubyokuziika .Abatuuze bategeezezza nga  amatatu agakubibwa kukitundu kyabwe saako nenjaga bwebivuddeko emize emikyaamu kukitundu kyabwe .

Omwogezi wa poliisi mubitundu ebye Wamala Norbert Ochom akakasizza ettemu lino wabula nalabula abatuuze okukomya omuze ogwokutwalira  amateeka mungalo nti era buli eyetabye mukikolwa kino wakukwatibwa avunanibwe mumbuga ezamateeka .