menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 week 5 days ago
561 Views

Share this story

Emmotoka z’empaka e ziggalawo omwaka zaakuyindira masaka
MOSAC olwaleero ezitongoza mu Mabira ku lugudo lw’ejinja.

Abavuzi ba motoka z’empaka abalubirira okuwangula engule y’omwaka guno nate bakwambalagana mu luvuga oluggalawo omwaka mu mpaka ezigenda okuyindira mu district y’eMasaka  wakati w’enaku z’omwezi 18 ne 19 omwezi guno.

Mu kiseera kino embiranye ey’okuwangula empaka zino eri wakati wa Christakis Fitidis ne Ronald Ssebuguzi eyawangula engule y’omwaka oguwedde.

Ekibiina ekifuga omuzannyo gwa motoka z’empaka mu ggwanga nabategesi b‘empaka zino aba MOSAC olwaleero lwebazitongoza mu Mabira ku lugudo lw’ejinja.