menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 2 weeks 6 days ago
483 Views

Share this story

EKIKOPO KYA COSAFA: Abali wansi w’emyaka 20 bali mu kutendekebwa
Abazannyi ba ttiimu y’eggwanga eyabali wansi w’emyaka amakumi abiri bakunganidde mu kisawe e Nambole enkya yaleero okutandika okwetegekera empaka za mawanga g’obukika dyo bwa Africa ezigenda okubera mu ggwanga lya Zambia mu mwezi gwa December.

Wabula banno bakutandika okutendekebwa mubutongole ku balaza ya sabiti ejja.

Ttimu ya Uganda eyabali wansi w’emyaka amakumi abiri yayitibwa okwetaba mu mpaka za mawanga g’obukika dyo bwa Africa ezigenda okugibwako akawuwo nga mukaaga omwezi ogujja mu ggwanga lya Zambia.

Wabula nga tebanatandika kutendekebwa mu butongole, banno olwaleero bakunganidde mu kisawe e Nambole okuwayo ebiwandiko byabwe n’oluvanyuma nebatendekebwamu.

Omutendesi Matiya Lule atubulidde ebigendererwabye mu mpaka zinno.

Ebyo nga biri bityo zo empaka za University football league zakukomekerezebwa ku lw’omukaaga lunno mu kisawe e Nambole, ttimu ya Makerere Business School bweneba entunka ne Uganda Martyrs University.

Aba Makerere Business School balubirira kuwangula empaka zinno omurundi ogw’okubiri ate Uganda Martyrs bagala kisooka.